P. O. Box 70437 Kampala
info@ourladyo,fmountcarmelkansanga.org
+256707452109
Home
Daily Readings
About
Responsibilities
Good Samaritan
Projects
More Pages
Announcement
Youths ministry
Children’s Ministry
Programmes
Our Team
Testimonial
History
choirs
choirs
Administration page
Contact
Donate
Luganda Announcements
Home
Pages
Luganda announcements
FFE ABABATIZE, TUTAMBULIRE WAMU NGA TWENYIGIRA MU MIRIMU GY’OBUTUME, (EFEZI 4:1:-16)
ABAGOLE:
Ekirango(2)
Omwami.David Elvis Solobonda mutabani w’omwami David Ihalwe n’Omukyala.Bweguu Maria Gorrette ab’eKyanja, ayagala kugattibwa n’Omukyala Fausta Nabachwa, muwala w’Omwami. Paul Kaganda n’Omukyala Bernadette Nanyondo ’eKkonge Lukuli.
Ebilango.
1. Leero Sunday nga 26/10/2025 lwe tukuza olunaku lwe Ssaza Ekkulu elye Kampala e lubaga mu missa ye ssaawa nnya ez’okumakya. Abakristu mwenna muyitibwa okwetaba mu missa eyo, missa nga ewedde muli bakukumba nga muwerekera Bwanamukulu wamwe nga muyita mu maaso g’omusumba.
2. Leero Ssande 26/10/2025 ye ssande esemba mu mwezi gye tugabirako amabaasa ag’ekimu eky’ekkumi. Funa ebbaasa yo ey’ekimu eky’ekkumi okuva mu baweereza otegeke okugizza Ssande ejja nga 02/11/2024. Mwebale nnyo.
3. Owabaami Abakatoliki ategeeza abaami mwenna okuva mu bubondo mugenda kwetaba mu byentetereza,okusoma amasomo n’okuwereeza mu missa ya ssaawa 11:30am ku Sunday ejjaMukama. .
nga 2/11/2025. Ayita abakulembeze ba baami mu bisomesa n’obubonda okujja mu lukiiko nga 28/10/2025 ku ssaawa kumi n’emu ez’olweggulo wano ku Parish.
4.
CHURCH REFURBISHMENT FUNDRAISING UPDATE SUNDAY 26/10/2025
5.Olw’okuwagira omulimu gw’okuddaabiriza Ekelezia, Bwanamukulu wamu n’olukiiko lwa Development batongozza enkola y’okugula Certificate ku miwendo egy’enjawulo:25,000=/ ,50,000=/,100.000=/,200,000/=, 500,000/=1,000,000/= & 5,000,000/= .
6. Our Lady of Mt. Carmel Kansanga Catholic Parish esanyuse okubategeeza ku nkola empya ey’okusaba n’okusinza, ng’ekigendererwa kye kwongera okunyweza omukwano gwaffe n’obumu mu Mukama. Okuva ku lwokuna nga 30 October 2025, tujja kuba n’ekiseera eky’okusinza mu nyimba (worship) mu maaso ga Ssakaramenti Entukuvu buli Lwakuna olusooka n’olusembayo mu mwezi akawungeezi. Kino kijja kutandika ssaawa kumi nemu (11:00) ez’olwegulo okutuuka ku kumi nabiri (12:00) - (5:00 pm - 6:00 pm). Okuddirira ekiseera kino eky’okusinza, Emisa ya bulijjo ey’akawungeezi ejja kutandika essaawa 12:00 (6:00 pm). Tubakubirizza mwena okwongera okwetaba mu kiseera kino ekitukuvu, nga tweyongera mu kwagala kwa Mukama waffe mu kusinzan’okusaba. Okwongela okutuwa amagezi n’Okumanya ebisingawo tukilila
Rev. Fr. Ronald Kigozi.
7. Ababakulembeze ba Kanasnaga Parish mwenna okuva ku bubondo muyitibwa mu musomoa gw’abakulembeze Sunday nga 16/11/2025 ku Ssaaw nnya ez’okumakya wano ku Parish.
8. Ekitongole ky’abavubuka ba Kansanga parish bategeeza abavubuka n’abantu ba katonda mwenna nti bajja kuba n’ekyoto omulundi ogw’okubiri nga 31st October 2025.bajja kutandika ssaawa Kkumi nabbiri mu kifo ekya bulijjo parking yard.
9. Our Lady of Sorrows Group bategeeza abakristu mwenna nti bajja kulamga eKibeho Rwanda nga 28/10/2025 okutuka nga 31/10/2025. Ebisale emitwalo 250,000.Ebingawo ku notice board.
10.Rhona Medical Centre bakugema abaana buli lwa kutaano wano ku Parish okuva Ssaawa satu ez’okumakya paka ssaawa musanvu ez’emisana.Abo atasobole kujja ku lw’okutaano musabibwa okugenda ku Rhona Medical Centre e Kansanga kumpi ne UK mall
11.
KANSANGA PARISH SEPTEMBER TITHE 2025
©
ourladyofmountcarmelkansanga
, 2025 All Right Reserved.
Donated & Designed By
Musinguzi Technologies